Joel 1

1 aBuno bwe bubaka bwa Mukama obwajjira Yoweeri mutabani wa Pesweri.

2 bMuwulirize mmwe abakadde ba Isirayiri,
buli ali mu nsi naye awulirize.
Kino kyali kibaddewo mu biseera byammwe,
oba mu biseera bya bakitammwe?
3 cMukibuulire abaana bammwe,
nabo balikibuulira abaana baabwe,
nabo balikibuulira ab’emirembe egiriddawo.
4 dEbibinja by’enzige ebisooka bye zitalidde,
enzige eziddirira zibirumbye,
ate ezo bye zireseewo,
enzige ento bye ziridde,
ate zino bye zireseewo,
enzige endala ne zibizikiririza ddala byonna!

5 eMuzuukuke, mmwe abatamiivu, mwekaabire amaziga;
mukube ebiwoobe mmwe mwenna abanywi b’omwenge,
mukube ebiwoobe kubanga akamwa kammwe
katuuse okwerabira omwenge omusu.
6 fEggwanga lirumbye ensi yange,
ery’amaanyi ennyo era ery’abantu abatabalika.
Amannyo gaalyo gali ng’ag’empologoma,
n’amasongezo gaalyo ng’ag’empologoma enkazi.
7 gEggwanga eryo lizikirizza emizabbibu gyange,
ne limalawo emitiini gyange.
Lisusumbudde ebikuta byagyo,
byonna biri ku ttaka,
amatabi gaagyo gasigadde gatukuuliridde.

8 hMukungubage nga nnamwandu omuto afiiriddwa bba,
ng’ayambadde ebibukutu olw’ennaku.
9 iEbiweebwayo eby’emmere ey’empeke n’ebiweebwayo eby’okunywa
tewakyali kirabikako mu nnyumba ya Mukama.
Bakabona abaweerereza mu maaso ga Katonda
bakungubaga.
10 jEnnimiro ziweddemu ebirime;
ettaka likaze,
Emmere ey’empeke eweddewo,
omwenge omusu n’amafuta g’emizeeyituuni ne bibulira ddala.

11 kMmwe abalimi mukwatibwe entiisa,
mmwe abalima emizabbibu mukaabe.
Mukaabire eŋŋaano ne sayiri,
kubanga ebyandikunguddwa byonna biweddewo.
12 lOmuzabbibu gukaze
n’omutiini guyongobedde.
Omukomamawanga, n’olukindu ne apo
n’emiti gyonna egy’omu nnimiro giwotose.
Abantu tebakyalina ssanyu.

Abantu bayitibwa Okwenenya

13 mMmwe bakabona, mwesibe mwambale ebibukutu mukungubage.
Mmwe abaweereza ba Katonda wange ab’oku kyoto,
mweyale wansi awali ekyoto,
musule awo ekiro kyonna nga mukuba ebiwoobe,
kubanga mu nnyumba ya Katonda wammwe temukyali kiweebwayo kyonna,
eky’emmere ey’empeke oba eky’envinnyo.
14 nMulangirire okusiiba okutukuvu
n’okukuŋŋaana mu maaso ga Katonda.
Muyite abakulu abakulembeze
n’abantu bonna ababeera mu nsi,
bajje mu nnyumba ya Mukama Katonda waabwe
bamukaabirire.

15 oZitusanze olw’olunaku luli!
Kubanga olunaku lwa Mukama olw’entiisa lusembedde.
Lulijja, ng’okuzikiriza
okuva eri Ayinzabyonna.

16 pEmmere tetuweddeeko
nga tulaba?
Essanyu n’okujaguza
mu nnyumba ya Katonda waffe tebikomye?
17 qEnsigo ziwotokedde
mu ttaka,
amawanika makalu
n’ebyagi by’emmere bikaze,
kubanga emmere ey’empeke eweddewo.
18Ensolo nga zisinda!
Amagana gabuliddwa amagezi;
kubanga tewali muddo,
n’endiga nazo zidooba.

19 rAyi Mukama, Ggwe gwe nkaabirira,
kubanga omuddo gwonna gumaliddwawo empiira,
n’emiti gyonna egy’omu nnimiro
nagyo giyidde.
20 sEnsolo ez’omu nsiko nazo zikukaabira okuziyamba,
emigga gikalidde,
ne gye ziriira, omuddo gwonna guyidde.
Copyright information for LugEEEE